Publicidade

Salmos 82

Zabbuli ya Asafu.

1 Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,

ng’alamula bakatonda.

2 Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,

nga musalira abanafu?

3 Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;

abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.

4 Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;

mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

5 Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.

Batambulira mu kizikiza;

emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

6 Njogedde nti, Muli bakatonda,

era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.

7 "Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;

muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo."

8 Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;

kubanga amawanga gonna gago.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-