Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 140

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

1 Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,

omponye abantu abakambwe;

2 abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;

abanoonya entalo buli kiseera.

3 Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;

ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obwessalambwa.

4 Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;

omponye abantu abakambwe

abateesa okunkyamya.

5 Abantu ab’amalala banteze omutego;

banjuluzza ekitimba kyabwe;

ne batega emitego mu kkubo lyange.

6 Nagamba Mukama nti, "Ggwe oli Katonda wange."

Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!

7 Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,

ggwe engabo yange mu lutalo.

8 Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,

era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;

baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

9 Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe

zibeekyusizeeko baboneebone.

10 Amanda agaaka omuliro gabagwire;

basuulibwe mu muliro,

bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.

11 Tokkiriza balimba kweyongera bungi;

abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.

13 Abatuukirivu banaakutenderezanga,

era w’oli we banaabeeranga.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também