Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 54

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, "Dawudi yeekwese mu ffe."

1 Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,

n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.

2 Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,

owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

3 Abantu be simanyi bannumba;

abantu abalina ettima abatatya Katonda;

bannoonya okunzita.

4 Laba, Katonda ye mubeezi wange,

Mukama ye mukuumi wange.

5 Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,

obazikirize olw’obwesigwa bwo.

6 Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;

ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,

kubanga ddungi.

7 Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;

era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também