Publicidade

Salmos 70

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

1 Ayi Katonda oyanguwa okundokole.

Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.

2 Abo abannoonya okunzita

batabulwetabulwe;

abo abannoonya okunzikiriza,

bagobebwe nga baswadde.

3 Abagamba nti, "Kasonso,"

badduke nga bajjudde ensonyi.

4 Naye bonna abakunoonya

basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.

Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,

"Katonda agulumizibwenga!"

5 Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;

oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.

Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,

Ayi Mukama, tolwa!

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-