Publicidade

Salmos 1

1 Alina omukisa omuntu

atatambulira mu kuteesa kw’ababi,

era atayimirira mu kibiina ky’ababi,

newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.

2 Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,

era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.

3 Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,

ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,

n’ebikoola byagwo tebiwotoka.

Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

4 Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.

Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.

5 Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;

newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

6 Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,

naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-