Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 124

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

1 Isirayiri agamba nti,

singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,

2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe

abalabe baffe bwe baatulumba,

3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,

obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.

4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,

ne mukoka n’atukulukutirako;

5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira

ganditukuluggusizza.

6 Mukama atenderezebwe

atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.

7 Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva

ku mutego gw’abatezi;

omutego gukutuse,

naffe tuwonye!

8 Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,

eyakola eggulu n’ensi.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também