Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 13

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1 Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?

Olikomya ddi okunkweka amaaso go?

2 Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,

n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?

Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

3 Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;

onzizeemu amaanyi nneme okufa.

4 Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, "Mmuwangudde;"

abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

5 Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;

era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.

6 Nnaayimbiranga Mukama,

kubanga ankoledde ebirungi.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também