Publicidade

Salmos 6

Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

1 Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;

so tombonereza mu kiruyi kyo.

2 Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.

Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.

3 Emmeeme yange ejjudde ennaku.

Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

4 Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;

omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.

5 Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.

Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

6 Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.

Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange

n’omutto ne gutoba.

7 Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,

tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

8 Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;

kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.

9 Mukama awulidde okwegayirira kwange,

n’okusaba kwange akukkirizza.

10 Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;

bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-