Publicidade

Salmos 113

1 Mutendereze Mukama!

Mumutendereze, mmwe abaweereza be,

mutendereze erinnya lya Mukama.

2 Erinnya lya Mukama litenderezebwe

okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

3 Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,

erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

4 Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,

era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.

5 Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,

atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,

6 ne yeetoowaza

okutunuulira eggulu n’ensi?

7 Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;

n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,

8 n’abatuuza wamu n’abalangira,

awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.

9 Omukazi omugumba amuwa abaana,

n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-