Publicidade

Salmos 2

1 Lwaki amawanga geegugunga

n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?

2 Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,

n’abafuzi ne bateeseza wamu

ku Mukama

ne ku Kristo we, nga bagamba nti,

3 "Ka tukutule enjegere zaabwe,

era tweyambulemu ekikoligo kyabwe."

4 Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,

abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.

5 N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,

n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.

6 N’abagamba nti, "Ddala ddala nateekawo kabaka owange

ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu."

7 Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:

kubanga yaŋŋamba nti, "Ggwe oli Mwana wange,

olwa leero nfuuse kitaawo.

8 Nsaba,

nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,

era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.

9 Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,

era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi."

10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;

muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.

11 Muweereze Mukama nga mumutya,

era musanyuke n’okukankana.

12 Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira

n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;

kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.

Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-