Publicidade

Salmos 122

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

1 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,

"Tugende mu nnyumba ya Mukama!"

2 Ebigere byaffe biyimiridde

mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.

3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba

ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.

4 Eyo ebika byonna gye biraga,

ebika bya Mukama,

okutendereza erinnya lya Mukama

ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.

5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;

z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.

6 Musabirenga Yerusaalemi emirembe:

"Abo abakwagala bafune ebirungi.

7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;

n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu."

8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange

nnaayogeranga nti, "Emirembe gibeerenga mu ggwe."

9 Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-