Publicidade

Salmos 100

Zabbuli ey’okwebaza.

1 Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.

2 Muweereze Mukama n’essanyu;

mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.

3 Mumanye nga Mukama ye Katonda;

ye yatutonda, tuli babe,

tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

4 Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,

ne mu mpya ze n’okutendereza;

mumwebaze mutendereze erinnya lye.

5 Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;

n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-