Publicidade

Salmos 5

Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.

1 Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;

olowooze ku kunyolwa kwange.

2 Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,

Ayi Kabaka wange era Katonda wange:

kubanga ggwe gwe nsaba.

3 Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;

buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,

ne nnindirira onziremu.

4 Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:

n’ebitasaana tobigumiikiriza.

5 Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:

kubanga okyawa abakola ebibi bonna.

6 Abalimba bonna obazikiriza;

Mukama akyawa abatemu

era n’abalimba.

7 Naye olw’ekisa kyo ekingi,

nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:

ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu

n’okutya okungi.

8 Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,

olw’abalabe bange,

ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.

9 Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;

emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.

Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:

akamwa kaabwe koogera bya bulimba.

10 Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;

baleke bagwe mu mitego gyabwe.

Bagobe

kubanga baakujeemera.

11 Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;

ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,

obakuumenga,

abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.

12 Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;

era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-