Publicidade

Salmos 75

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, "Tozikiriza." Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.

1 Tukwebaza, Ayi Katonda.

Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.

Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

2 Mukama Katonda oyogera nti, "Neerondera ekiseera kye neetegekera

era nsala omusango gwa bwenkanya.

3 Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,

naye nze nywezezza empagi zaayo."

4 Nalabula ab’amalala bagaleke,

n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.

5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu

n’okwogera nga muduula.

6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu

era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,

7 wabula biva eri Katonda;

era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.

8 Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe

ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;

akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi

ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

9 Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;

nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.

10 Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,

naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-