Publicidade

Salmos 42

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1 Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,

n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.

2 Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.

Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?

3 Nkaabirira Mukama

emisana n’ekiro.

Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,

abantu ne baŋŋamba nti, "Katonda wo ali ludda wa?"

4 Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange

nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,

ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,

nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,

nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka

n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

5 Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?

Lwaki otabusetabuse mu nda yange?

Essuubi lyo liteeke mu Katonda,

kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;

ye mubeezi wange.

6 Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,

yeeraliikiridde;

naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani

ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni ne ku Lusozi Mizali.

7 Obuziba bukoowoola obuziba,

olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro

amayengo n’amasingisira go

bimpiseeko.

8 Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro

ne muyimbira oluyimba lwe;

y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

9 Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,

"Lwaki onneerabidde?

Lwaki ŋŋenda nkungubaga

olw’okujoogebwa abalabe bange?"

10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange

bancocca,

nga bwe bagamba buli kiseera nti,

"Katonda wo ali ludda wa?"

11 Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?

Lwaki otabusetabuse mu nda yange?

Weesigenga Katonda,

kubanga nnaamutenderezanga,

Omulokozi wange era ye Katonda wange.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-