Publicidade

Salmos 61

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

1 Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;

wulira okusaba kwange.

2 Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,

omutima gwange nga gugenda gunafuwa.

Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.

3 Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.

Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.

4 Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;

ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.

5 Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:

ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.

6 Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;

emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,

7 alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.

Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.

8 Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,

nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-