Publicidade

Salmos 12

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1 Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;

abantu abeesigwa bonna baweddewo.

2 Buli muntu alimba munne;

akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

3 Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,

na buli lulimi olwenyumiriza;

4 nga boogera nti, "Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,

kubanga ani alitukuba ku mukono."

5 Mukama ayogera nti, "Olw’okujoogebwa kw’abanafu,

n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,

nnaasituka kaakano

ne nnwanirira abo abalumbibwa."

6 Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.

Bigeraageranyizibwa n’effeeza

erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

7 Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,

n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.

8 Ababi beeyisaayisa

nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-