Publicidade

Salmos 99

1 Mukama afuga,

amawanga gakankane;

atuula wakati wa bakerubi,

ensi ekankane.

2 Mukama mukulu mu Sayuuni;

agulumizibwa mu mawanga gonna.

3 Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.

Mukama mutukuvu.

4 Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.

Onywezezza obwenkanya;

era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya

era bituufu.

5 Mumugulumize Mukama Katonda waffe;

mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.

Mukama mutukuvu.

6 Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;

ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;

baasabanga Mukama

n’abaanukula.

7 Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;

baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.

8 Ayi Mukama Katonda waffe,

wabaanukulanga;

n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,

newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.

9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,

mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,

kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-