Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 110

Zabbuli ya Dawudi.

1 Mukama yagamba Mukama wange nti:

"Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,

okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo

ne mbassa wansi w’ebigere byo.110:1 Entebe ez’obwakabaka ez’edda, zaateekebwanga waggulu, kabaka ng’alina kulinnya maddaala okutuulako. Bakabaka abaawangulanga abalabe baabwe, babafufugazanga ne babassa wansi w’ebigere byabwe."

2 Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;

olifuga abalabe bo.

3 Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo

ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.

Abavubuka bo,

nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,

balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

4 Mukama yalayira,

era tagenda kukijjulula,

yagamba nti, "Olibeera kabona emirembe gyonna

ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri."

5 Mukama anaakulwaniriranga;

bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.

6 Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,

n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.

7 Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,

n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também