Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 129

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1 Isirayiri ayogere nti,

"Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange."

2 Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;

naye tebampangudde.

3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye

era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,

4 kyokka Mukama mutuukirivu;

amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

5 Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe

era bazzibweyo emabega nga baswadde.

6 Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba129:6 Obusolya bw’ennyumba z’omu Isirayiri zaalina ettaka waggulu ku zo eryali litabuddwamu evvu n’omusenyu. Enkuba bwe yatonnyanga, mwamerangamu omuddo, kyokka omuddo ogwo gwakalanga mangu ddala olw’omusana okugwakako kubanga emirandira gyagwo tegyagendanga wala wansi mu kasolya,

oguwotoka nga tegunnakula.

7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.

8 Wadde abayitawo baleme kwogera nti,

"Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.

Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também