Publicidade

Salmos 146

1 Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

2 Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;

nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.

3 Teweesiganga bafuzi,

wadde abantu obuntu omutali buyambi.

4 Kubanga bafa ne bakka emagombe;

ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.

5 Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;

ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,

6 eyakola eggulu n’ensi

n’ennyanja ne byonna ebirimu,

era omwesigwa emirembe gyonna.

7 Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,

n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.

Mukama asumulula abasibe.

8 Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,

era awanirira abazitoowereddwa.

Mukama ayagala abatuukirivu.

9 Mukama alabirira bannamawanga,

era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;

naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 Mukama anaafuganga emirembe gyonna,

Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-