Publicidade

Salmos 149

1 Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,

mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

2 Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;

n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!

3 Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,

bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.

4 Kubanga Mukama asanyukira abantu be,

n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.

5 Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;

bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

6 Batenderezenga Katonda waabwe,

bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,

7 bawoolere eggwanga,

babonereze n’amawanga,

8 bateeke bakabaka baago mu njegere,

n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,

9 babasalire omusango ogwabawandiikirwa.

Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-