Publicidade

Salmos 52

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, "Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki."

1 Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?

Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.

2 Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.

Olulimi lwo lwogi nga kkirita

era buli kiseera lwogera bya bulimba.

3 Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,

n’okulimba okusinga okwogera amazima.

4 Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.

Ggwe olulimi kalimbira!

5 Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;

alikusikula, akuggye mu maka go;

alikugoba mu nsi y’abalamu.

6 Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.

Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,

7 "Mumulabe omusajja

ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,

naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,

ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala."

8 Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni

ogukulira mu nnyumba ya Katonda.

Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo

emirembe n’emirembe.

9 Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.

Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;

era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-