Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 123

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1 Nnyimusa amaaso gange gy’oli,

Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.

2 Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;

n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we123:2 Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe,

n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,

okutuusa lw’alitusaasira.

3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,

kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.

4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,

n’okunyoomebwa ab’amalala.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também