Publicidade

Salmos 48

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1 Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo

mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

2 Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,

olusanyusa ensi yonna.

Ku ntikko Zafoni kwe kuli

ekibuga kya Kabaka Omukulu;

3 Katonda mw’abeera;

yeeraze okuba ekigo kye.

4 Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana

ne bakyolekera bakirumbe;

5 bwe baakituukako ne bakyewuunya,

ne batya nnyo ne badduka;

6 nga bakankana,

ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.

7 Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba

bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.

8 Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,

kaakano tubirabye

mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,

mu kibuga kya Katonda waffe,

kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

9 Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo

nga tuli mu Yeekaalu yo.

10 Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,

bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.

Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.

11 Sanyuka gwe Sayuuni,

musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;

kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;

mubale n’ebigo byakyo.

13 Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo

n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;

mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.

14 Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;

y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-