Publicidade

Salmos 87

Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.

1 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.

2 Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni

okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

3 Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,

ggwe ekibuga kya Katonda.

4 "Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,

ne Babulooni;

era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo

ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ "

5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,

"Ono n’oli baazaalirwa omwo,"

n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.

6 Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,

omuli amannya g’abantu nti, "Ono yazaalibwa omwo."

7 Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,

"Ensulo zange zonna ziri mu ggwe."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-