Publicidade

Salmos 67

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.

1 Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,

era otwakize amaaso go.

2 Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,

n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.

3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,

abantu bonna bakutenderezenga.

4 Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.

Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,

n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.

5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,

abantu bonna bakutenderezenga.

6 Ensi erireeta amakungula gaayo;

era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.

7 Katonda anaatuwanga omukisa;

n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-