Homem
A Bíblia fala sobre o homem como criação de Deus — feito à sua imagem e semelhança, mas também frágil, mortal e necessitado de redenção.
Criado à imagem de Deus
Deus criou o homem à sua imagem. Mas pelo pecado, o homem caiu e passou a depender da graça para ser restaurado.
Awo Katonda n’agamba nti, "Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna."
Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,
mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;
n’abatonda omusajja n’omukazi.
Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba.
Ekibi kyajja mu nsi olw’omuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri y’emu olw’okuba nga bonna baayonoona, bonna balifa.
kyekyava kiwandiikibwa nti, "Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu." Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. Naye eky’omwoyo si kye kyasooka, wabula eky’omubiri obubiri kye kyasooka, n’oluvannyuma eky’omwoyo ne kijja. Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. Ng’eyakolebwa mu nfuufu bw’ali, n’abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.
Fragilidade humana
O homem nascido de mulher é de poucos dias e cheio de inquietação. Deus conhece nossa fragilidade e cuida de nós.
"Omuntu azaalibwa omukazi,
abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza,
n’omulowoozaako?
Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,
"Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?
Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama,
omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?
Renovação e chamado
Despojados do velho homem e revestidos do novo, somos chamados a buscar a justiça, a piedade e o amor.
kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.
Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe,
Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda, n’okukkiriza, n’okwagala, n’okugumiikiriza, n’obuwombeefu.
Bwe nnali omuto, nayogeranga ng’omuto, nalowoozanga ng’omuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka eby’ekito.
Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna,
era n’akebera n’amakubo ge gonna.
Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe,
Naye okuddamu kuva eri Mukama.
A confiança errada
Maldito o homem que confia no homem. O homem de duplo ânimo é instável em todos os seus caminhos.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
era alina omutima oguva ku Katonda.
Omuntu ng’oyo bw’atasaba na kukkiriza tasuubira Mukama kumuwaayo kintu kyonna. Kubanga omuntu ow’emyoyo ebiri, buli gy’adda tanywererayo.
Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo,