Irmãos de Jesus
Os irmãos de Jesus são mencionados nos Evangelhos. Embora inicialmente céticos sobre sua missão, alguns, como Tiago, tornaram-se líderes da igreja primitiva.
Menções nos Evangelhos
Jesus teve irmãos chamados Tiago, José, Simão e Judas. Eles conviveram com Ele na casa de Nazaré e participaram de sua vida pública.
Ne beebuuza nti, "Ono si ye mutabani w’omubazzi? Nnyina ye Maliyamu ne baganda be ba Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni ne Yuda. Ne bannyina babeera kuno. Kale, ebyo byonna yabiggya wa?"
Yesu ne Baganda be ne Nnyina
Yesu bwe yali akyayogera n’ekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye.
Baganda ba Yesu ne Nnyina
Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo. Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, "Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya."
Naye n’abaddamu nti, "Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?"
Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, "Bano be mulaba be bammange era be baganda bange! Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange."
Nnyina ne Baganda ba Yesu
Awo nnyina ne baganda ba Yesu ne bajja okumulaba, naye ne batasobola kumutuukako olw’ekibiina ky’abantu ekinene.
Da incredulidade à fé
Os irmãos de Jesus não criam nele inicialmente. Mas após a ressurreição, estavam entre os discípulos em oração.
Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, "Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola. Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi." Baganda be nabo tebaamukkiriza.
Yesu n’amugamba nti, "Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe."
Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.
Naye ssaalaba mutume mulala wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe.
Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi. Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be.