Legalidades
A Bíblia reconhece a necessidade de leis e governo civil. Os cristãos são chamados a obedecer às autoridades estabelecidas por Deus, enquanto mantêm a lealdade suprema a Cristo.
Submissão às autoridades
Toda autoridade é instituída por Deus. O cristão é chamado a respeitar as leis, pagar tributos e honrar quem governa.
Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era n’abafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda. Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango. Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wa buyinza, kola bulungi osiimibwe, kubanga muweereza wa Katonda ku lw’obulungi bwo. Naye bw’onookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala ky’alina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi. Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye n’olw’okumanya nga kye kituufu.
Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe. Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.
Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka.
Mukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lw’alirabikirako.
Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga buli kiragiro ky’abo abali mu buyinza, oba kabaka alina obufuzi obw’oku ntikko, oba abafuzi abalala b’atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n’okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi.
Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?"
Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, "Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe." Ne bamuleetera eddinaali. N’ababuuza nti, "Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?"
Ne bamuddamu nti, "Bya Kayisaali." N’abagamba nti, "Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda."
Obrigações legais
Jesus cumpriu obrigações legais, pagou impostos e orientou seus seguidores a obedecer à lei sem comprometer a fé.
Omusolo gwa Yeekaalu
Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, "Mukama wammwe tawa musolo?"
Peetero n’abaddamu nti, "Awa!"
Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, "Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?"
Peetero n’addamu nti, "Basolooza ku bannamawanga."
Yesu n’amugamba nti, "Kale bannansi bo ba ddembe." "Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri, ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo."
"Tegeeragananga mangu n’oyo akuwawaabira nga mukyali mu kkubo aleme kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi okukuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale okukuteeka mu kkomera. Nkutegeeza nti Olibeera omwo okutuusa lw’olimalayo byonna by’obanjibwa."
Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo n’abannaggwanga. Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo.
Okuzaalibwa kwa Yesu
Awo olwatuuka mu biseera ebyo, Kayisaali Agusito n’ayisa etteeka abantu bonna beewandiisa. Okubala kuno kwe kwasooka okubaawo ku mulembe gwa Kuleniyo nga ye gavana w’Obusuuli. Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi, yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza.
Perspectiva divina
As nações são como uma gota no balde diante de Deus. Ele abre portas que nenhuma lei pode fechar.
Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa,
era ng’enfuufu ekutte ku minzaani,
apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
Amawanga gonna ag’omu nsi
gabalibwa mu maaso ge,
gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.
Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.
Piraato n’amugamba nti, "Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta oba okukukomerera?"
Yesu n’amuddamu nti, "Tewandibadde na buyinza ku Nze n’akatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gy’oli be balina ekibi ekisinga."
Este artigo te tocou? Faça uma oração!
+581 estão orando agora.
Junte-se à corrente de oração.