Pular para o conteúdo
Publicidade

Motivação

Por Bíblia Online

Motivação verdadeira vem de Deus. A Bíblia nos inspira a correr a carreira da fé com perseverança, sabendo que o Senhor fortalece, guia e recompensa os fiéis.

Força do alto

Tudo posso naquele que me fortalece. Deus dá poder aos fracos e renova a força dos cansados — Ele é a fonte de toda motivação.

Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

Awa amaanyi abazirika,

n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.

Abavubuka bazirika, bakoowa,

n’abalenzi bagwira ddala.

Naye abo abalindirira Mukama

baliddamu buggya amaanyi gaabwe,

balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;

balidduka mbiro ne batakoowa,

balitambula naye ne batazirika.

Nsanyukira nnyo mu Mukama,

emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.

Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi

era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,

ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,

ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.

Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.

Correr para o alvo

Prossigo para o alvo, para o prêmio da soberana vocação de Deus em Cristo Jesus. A corrida da fé exige disciplina e foco.

Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso. Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.

Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

Katonda Akangavvula Abaana be

Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda. Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.

Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu,

Propósito e missão

Deus tem planos de esperança para nós. Cada dia é oportunidade de fazer a sua vontade e avançar com confiança na missão.

Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso," bw’ayogera Mukama.

Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga."

Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo."

Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga."

Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,

n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,

naye olumbe terulikutuukako.

Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga n’akatono. Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga.

Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.

Kyokka tuwulira nti mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo. Mu linnya lya Mukama waffe, tubeegayirira era tubakuutira abali bwe batyo, okukolanga emirimu n’obunyiikivu n’obuteefu balyoke balyenga ebyo bye bakoleredde. Naye mmwe temukoowanga kukola bulungi abooluganda abaagalwa.

Seja o primeiro