Pular para o conteúdo
Publicidade

Ouvir a voz de Deus

Por Bíblia Online

Ouvir a voz de Deus é o privilégio supremo do cristão. Ele fala por sua Palavra, pelo Espírito e em circunstâncias — e as ovelhas reconhecem a voz do bom Pastor.

As ovelhas ouvem a voz do Pastor

Jesus disse: minhas ovelhas ouvem minha voz, eu as conheço e elas me seguem. A relação com Deus é íntima e pessoal.

Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.

Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, Bonna baliyigirizibwa Katonda.Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi.

Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda."

"Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu.

Kigambo

Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda.

Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’ekyoyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

Deus fala pela Palavra

Toda Escritura é inspirada por Deus. A Bíblia é a voz confiável de Deus registrada para nos guiar em toda verdade.

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka. Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.

Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.

Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi

"Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi.

Naye Yesu n’addamu nti, "Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera."

Buscar e ouvir

Deus promete: 'Clama a mim, e te responderei.' Quando buscamos sinceramente sua voz, encontramos direção e revelação.

Mumpite n’abayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.

Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, "Lino ly’ekkubo, litambuliremu."

Ne mugamba nti, "Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obukulu bwe, era n’eddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro.

Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;

Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,

n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.

Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;

eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.

Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;

Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.

Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,

n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

Seja o primeiro