Publicidade

Páscoa

Por Bíblia Online

A Páscoa é a celebração suprema da redenção. Do cordeiro pascal no Egito ao Cordeiro de Deus que tira o pecado do mundo, ela aponta para o sacrifício e a vitória de Cristo.

A caminhada para a cruz

Jesus entrou em Jerusalém como Rei humilde, e a multidão o aclamou. Ele sabia do sofrimento que viria, mas caminhou em obediência até o fim.

Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti,

"Ozaana Omwana wa Dawudi!"

"Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama."

"Ozaana waggulu ennyo!"

Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,

Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.

Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.

Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni:

leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi;

laba, kabaka wo ajja gy’oli;

mutuukirivu era muwanguzi;

muwombeefu era yeebagadde endogoyi,

endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.

"Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana w’Omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, bamusalire omusango ogw’okufa. Era balimuwaayo eri Abamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa."

A paixão de Cristo

Jesus foi zombado, açoitado e crucificado. Ele orou no Getsêmani e entregou sua vida voluntariamente, dizendo: 'Está consumado!'

Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu, ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, "Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!"

Ne bawanika ekipande waggulu w’omutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti,

"Ono ye Yesu, Kabaka w’Abayudaaya."

N’asaba nti, "Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala."

Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, "Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo." Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.

Bwe yakombako n’agamba nti, "Kiwedde." N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.

A ressurreição gloriosa

Ele não está aqui — ressuscitou! O túmulo vazio é a prova de que a morte foi derrotada e Cristo vive para sempre.

Awo malayika n’agamba abakazi nti, "Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa, wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa.

Naye n’abagamba nti, "Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa.

Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, ‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ "

N’omuyigirizwa oli omulala, eyasooka okutuuka ku ntaana n’ayingira. N’alaba era n’akkiriza. Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu.

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-