Pular para o conteúdo
Publicidade

Protecção e segurança

Por Bíblia Online

Deus é nosso protetor e refúgio seguro. Em todas as circunstâncias, a Bíblia nos assegura que o Senhor guarda, sustenta e protege aqueles que nele confiam.

Deus, a nossa fortaleza

O Senhor é refúgio e fortaleza, socorro bem presente na angústia. Quem habita no esconderijo do Altíssimo descansa à sombra do Todo-Poderoso.

Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;

omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.

Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;

omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.

Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;

aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.

Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;

ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

Alikubikka n’ebyoya bye,

era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;

obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.

Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,

n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,

naye olumbe terulikutuukako.

Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;

Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,

tewali kabi kalikutuukako,

so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.

Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;

ani gwe nnaatyanga?

Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;

ani asobola okuntiisa?

Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;

ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.

Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;

era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.

O escudo do Senhor

Deus nos rodeia com sua proteção como um escudo. Ele é rocha, baluarte e libertador. Sua fidelidade nos cobre e nos guarda.

Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;

ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!

Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!

Bangi abanjogerako nti,

"Katonda tagenda kumununula."

Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;

ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.

Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,

n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,

kubanga Mukama ye ampanirira.

Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange

abanneetoolodde, okunnumba.

Katonda byonna by’akola bigolokofu;

Mukama ky’asuubiza akituukiriza;

era bwe buddukiro

bw’abo bonna abamwekwekamu.

Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;

era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;

weetoowazizza n’ongulumiza.

Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,

obukongovvule bwange ne butanuuka.

Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,

atendeka emikono gyange okulwana,

era ateekerateekera engalo zange olutalo.

Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,

ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.

Ye ngabo yange mwe neekweka.

Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.

ggwe awa bakabaka obuwanguzi;

amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.

Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;

ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,

obakuumenga,

abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.

Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;

era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.

Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;

ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.

Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa,

ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo

abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.

Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.

Omponye ababi abannumba,

n’abalabe bange abanneetoolodde.

Kubanga kabaka yeesiga Mukama,

era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,

kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;

omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.

Bw’olirabika, Ayi Mukama,

olibasiriiza n’omuliro ng’ogwomu kyoto ekyengeredde.

Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,

era alibamalirawo ddala.

Oli kifo kyange mwe nneekweka,

ononkuumanga ne situukwako kabi

era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.

Segurança e provisão

O Senhor supre todas as necessidades dos seus filhos. Quem busca o Reino primeiro não precisa temer — nada faltará aos que temem ao Senhor.

Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.

Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;

naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.

Weesigenga Mukama okolenga bulungi,

onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.

Nnali muto kati nkaddiye,

naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,

wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.

Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.

Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.

Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba."

Musabe, Munoonye, Mweyanjule

"Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo."

Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?

Guarda e livramento

O anjo do Senhor acampa ao redor dos que o temem e os livra. Deus promete guardar todas as nossas saídas e entradas para sempre.

Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,

n’abawonya.

Mukama anunula abaweereza be;

so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.

Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,

okubeerwa kwange kuva wa?

Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,

eyakola eggulu n’ensi.

Taliganya kigere kyo kusagaasagana;

oyo akukuuma taabongootenga.

Laba, oyo akuuma Isirayiri

taabongootenga so teyeebakenga.

Mukama ye mukuumi wo;

Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;

emisana enjuba teekwokyenga,

wadde omwezi ekiro.

Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;

anaalabiriranga obulamu bwo.

Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,

okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Onkuume, Ayi Katonda,

kubanga ggwe buddukiro bwange.

Onkuume, Ayi Katonda,

kubanga ggwe buddukiro bwange.

Nkulembeza Mukama buli kiseera,

era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,

siinyeenyezebwenga.

Nkulembeza Mukama buli kiseera,

era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,

siinyeenyezebwenga.

Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.

Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.

Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;

akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.

Labiriranga obulamu bwange, obamponye;

tondekanga mu buswavu,

kubanga ggwe kiddukiro kyange.

Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,

essubi lyange liri mu ggwe.

Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;

newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.

Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;

abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,

abawonya okufa,

era abawonya enjala.

Tulindirira Mukama nga tulina essuubi,

kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.

Confiança inabalável

Melhor é confiar no Senhor do que confiar no homem. Quem anda em integridade anda seguro, e a torre forte do nome do Senhor protege o justo.

Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.

Abantu bayinza kunkolako ki?

Kirungi okwesiga Mukama

okusinga okwesiga omuntu.

Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi,

omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.

Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi,

omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.

Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi,

era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.

Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo,

era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.

Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,

naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.

Buli kigambo kya Katonda kya mazima,

era aba ngabo eri abo abamwesiga.

Buli kigambo kya Katonda kya mazima,

era aba ngabo eri abo abamwesiga.

Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu,

naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.

Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta,

naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.

Kubanga Mukama awa amagezi;

era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.

Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,

era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.

Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,

era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.

Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka,

naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.

Embalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo,

naye obuwanguzi buva eri Mukama.

Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,

kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.

A presença protetora

O Senhor prometeu estar conosco e nunca nos desampara. Ele é como sombra à nossa direita e fortaleza em todo o tempo.

Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga."

Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo,

era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna.

Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba,

n’agamba nti, Bazikirize!

Bye yayogera ku Benyamini:

"Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu,

Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo,

omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye."

Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola,

era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe.

Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama,

n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,"

bw’ayogera Mukama.

Mukama alikuuma mirembe

oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.

Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.

Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.

Nze nabakola era nze nnaabawekanga.

Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,

bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;

alikikuuma, n’akiwonya,

alikiyitamu n’akirokola."

Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,

mudduukirirenga abajoogebwa,

musalenga omusango gw’atalina kitaawe,

muwolerezenga bannamwandu.

Bwe munaagondanga ne muwulira,

munaalyanga ebirungi eby’ensi;

naye bwe munaagaananga ne mujeemanga

ekitala kinaabalyanga,"

kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi."

Mukama mulungi,

kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,

era alabirira abo bonna abamwesiga.

Promessas de cuidado

Deus garante que nem um fio de cabelo cairá sem sua permissão. Ele deseja que vivamos em paz, confiança e segurança total nele.

Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.

Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga."

Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange. Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira. Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe."

Awo Yesu n’ababuuza nti, "Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?" Ne baddamu nti, "Nedda."

Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bw’abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa?

Kyetuva twogera n’obuvumu nti,

"Mukama ye mubeezi wange, siityenga,

omuntu ayinza kunkola ki?"

Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.

Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga.

Fidelidade e aliança

Deus é fiel à sua aliança. Ele protege cada promessa que faz e guarda os seus como a menina dos seus olhos.

Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani.

Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa.

Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira. Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi.

Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana ow’okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire."

Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi.

Kubanga ani Katonda wabula Mukama,

era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?

Kale nno okkirize okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa enywerere mu maaso go ennaku zonna, kubanga ggwe Ayi Mukama Katonda oyogedde, era ennyumba ey’omuddu wo eneebanga n’omukisa ennaku zonna."

Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja abamanyiddwa mu nsi.

"Mugonderenga ebiragiro byange, era mukwatenga amateeka gange, bwe mutyo munaatuulanga n’emirembe mu nsi yammwe.

Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi."

Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna

nga tasoose kukibikkulira

baweereza be, bannabbi.

Provisão diária

Deus satisfaz os desejos do coração dos seus filhos. Ele abençoa, renova as forças e sustenta dia após dia quem nele confia.

Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,

amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.

Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,

ajja kukuwanirira;

kubanga talireka mutuukirivu kugwa.

Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;

mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;

kubanga ggwe kigo kyange,

era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.

Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;

bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,

naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.

Muyimbire Katonda,

muyimbe nga mutendereza erinnya lye;

mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.

Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.

Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;

ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.

Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,

eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.

Nze Mukama Katonda wo,

eyakuggya mu nsi y’e Misiri.

Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.

Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;

atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;

tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa

abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,

akuuma obulamu bw’abamwesiga,

n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.

Mukama alabirira abantu abaabulijjo;

bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

Wummula ggwe emmeeme yange,

kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.

Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,

n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;

n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,

ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama

mu nsi ey’abalamu.

Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;

essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

Mukama bw’atazimba nnyumba,

abo abagizimba bazimbira bwereere.

Mukama bw’atakuuma kibuga,

abakuumi bateganira bwereere.

"Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;

ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.

Abalabe be ndibajjuza ensonyi,

naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi."

Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;

kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.

Tolekulira ebyo bye watonda.

Oyanjuluza engalo zo,

ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,

n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.

Mukama asumulula abasibe.

Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,

era awanirira abazitoowereddwa.

Mukama ayagala abatuukirivu.

Mukama alabirira bannamawanga,

era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;

naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;

kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,

ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani.

Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’abobuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu.

"Omuntu alinyaga Katonda?

"Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, Tukunyaga tutya?’ 

"Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi. Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze. Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese," bw’ayogera Mukama ow’Eggye, "obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.

Ndiziwa omukisa wamu n’ebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba ey’omukisa.

Amagezi kiwummulo,

ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,

naye enkizo y’okumanya y’eno:

amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.

Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.

Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.

Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika."

era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.

Seja o primeiro