Pular para o conteúdo
Publicidade

Salmos 81

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

1 Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;

muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!

2 Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa

n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.

3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,

era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.

4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,

lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.

5 Yaliteekera Yusufu,

Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;

gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.

6 "Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;

n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.

7 Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,

nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;

ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.

8 Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.

Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!

9 Temubeeranga na katonda mulala,

wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.

10 Nze Mukama Katonda wo,

eyakuggya mu nsi y’e Misiri.

Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.

11 "Naye abantu bange tebampuliriza;

Isirayiri teyaŋŋondera.

12 Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,

okugoberera ebyo bye baagala.

13 "Singa abantu bange bampuliriza;

singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,

14 mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,

ne mbawangula.

15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;

ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.

16 Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,

ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi."

Veja também