Pular para o conteúdo
Publicidade

Oluyimba 6

Abemikwano

1 Muganzi wo alaze wa,

ggwe akira abakyala bonna obulungi?

Muganzi wo yakutte lya wa

tumukunoonyezeeko?

Omwagalwa

2 Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,

mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,

okulabirira ennimiro ye

n’okunoga amalanga.

3 Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;

anoonyeza mu malanga.

Owoomukwano

4 Oli mubalagavu nga Tiruza,6:4 Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono

omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,

era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.

5 Tontunuulira nnyo

kubanga amaaso go gantawanya.

Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi,

eziserengeta okuva e Gireyaadi.

6 Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga

eziva okunaazibwa;

buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,

so tewali eri yokka.

7 Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye,

buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.

8 Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,

n’abazaana kinaana,

n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,

9 ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,

mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina

okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.

Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;

bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.

Abemikwano

10 Ani ono alabika ng’emmambya,

omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,

alina ekitiibwa ng’ekyemunnyeenye?

Owoomukwano

11 Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza

okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu,

okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa,

n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.

12 Bwe nnali nkyali awo

emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.

Abemikwano

13 Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu;

komawo, komawo tukutunuleko.

Owoomukwano

Lwaki mutunuulira Omusulamu

ng’abali ku mazina ga Makanayimu?

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também