Publicidade

Cânticos 8

1 Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange

era eyayonka amabeere ga mmange,

nandikusanze ebweru

nandikunywegedde

ne wataba n’omu annyooma.

2 Nandikukulembedde

ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange,

oyo eyangigiriza.

Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa,

omubisi ogw’amakomamawanga gange.

3 Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange

n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.

4 Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,

temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala

okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.

Abemikwano

5 Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu

nga yeesigamye muganzi we?

Omwagalwa

Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.

Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo

maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.

6 Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,

era ng’akabonero ku mukono gwo,

kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,

obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.

Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,

omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.

7 Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala

n’emigga tegiyinza kukumalawo.

Singa omuntu awaayo

obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,

asekererwa nnyo.

Abemikwano

8 Tulina muto waffe

atannamera mabeere,

naye tulikola tutya

bw’alituuka okwogerezebwa?

9 Singa abadde bbugwe

twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza,

singa abadde luggi

twandimuggalidde na mivule.

Omwagalwa

10 Ndi bbugwe

era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro,

noolwekyo mu maaso ge,

mmufuukidde aleeta emirembe.

11 Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni,

n’agisigira abalimi.

Buli omu ku bo yamusalira

ebitundu bya ffeeza lukumi.

12 Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange,

ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,

ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.

Owoomukwano

13 Ggwe abeera mu nnimiro

ne mikwano gyo nga weebali,

ka mpulire eddoboozi lyo.

Omwagalwa

14 Yanguwa okuvaayo eyo,

odduke mangu ng’empeewo

oba ng’ennangaazi ento,

oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.

Veja também

Publicidade
Cânticos
Ver todos os capítulos de Cânticos
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-