Obufumbo
1 Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. 2 Naye olw’ebikolwa eby’obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba. 3 Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo. 4 Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza. 5 Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga ery’okusabiramu n’oluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olw’obuteefuga bwammwe.