Publicidade

Amós 8

Ekisero ky’Ebibala

1 Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde. 2 Mukama n’ambuuza nti, "Amosi, kiki ky’olaba?"

Ne muddamu nti, "Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde."

Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, "Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.

3 "Ku lunaku olwo," bw’ayogera Mukama Katonda, "okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro."

4 Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,

era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,

5 nga mwogera nti,

"Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,

tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,

era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,

tutunde eŋŋaano yaffe?"

Mukozesa minzaani enkyamu

ne mwongera emiwendo

ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,

6 mmwe abagula abaavu n’effeeza

n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,

ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.

7 Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, "Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.

8 "Ensi terikankana olw’ekyo,

na buli abeeramu n’akungubaga?

Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira

n’ekka ng’amazzi

ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola."

9 Mukama Katonda agamba nti,

"Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu

era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.

10 Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga

era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.

Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu

n’emitwe gyammwe mugimwe.

Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,

era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.

11 "Ekiseera kijja," bw’ayogera Mukama Katonda,

"lwe ndisindika enjala mu nsi yonna,

teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi,

naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.

12 Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala,

bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo

nga banoonya ekigambo kya Mukama,

naye tebalikifuna.

13 "Mu biro ebyo,

"abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi

balizirika olw’ennyonta.

14 Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya

oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’

oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’

baligwa obutayimuka nate."

Veja também

Publicidade
Amós
Ver todos os capítulos de Amós
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-