Publicidade

Amós 3

Okulabula Abantu ba Isirayiri

1 Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.

2 "Mu bantu bonna abali ku nsi,

mmwe mwekka be nalonda.

Kyendiva mbabonereza

olw’ebibi byammwe byonna."

3 Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu

wabula nga bakkiriziganyizza?

4 Empologoma ewulugumira mu kisaka

nga terina muyiggo?

Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo

nga teriiko ky’ekutte?

5 Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego

nga tewali kikasikirizza?

Omutego gumasuka

nga teguliiko kye gukwasizza?

6 Akagombe kavugira mu kibuga

abantu ne batatya?

Akabenje kagwa mu kibuga

nga Mukama si y’akaleese?

7 Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna

nga tasoose kukibikkulira

baweereza be, bannabbi.

8 Empologoma ewulugumye,

ani ataatye?

Mukama Katonda ayogedde

ani ataawe bubaka bwe?

9 Langirira eri ebigo by’e Asudodi

n’eri ebigo by’e Misiri nti,

"Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya

mulabe akajagalalo akanene akali eyo

n’abantu be nga bwe bajoogebwa."

10 Mukama agamba nti, "Abantu abajjuzza

ebigo byabwe n’ebintu ebinyage,

tebamanyi kukola kituufu."

11 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

"Omulabe alirumba ensi,

n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi

era n’abinyagulula."

12 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

"Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma

n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,

bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,

abo abatuula mu Samaliya

ku nkomerero y’ebitanda byabwe

ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.

13 "Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna," bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

14 "Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye,

ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri,

n’amayembe g’ekyoto galisalibwako

ne gagwa wansi.

15 Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti,

awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu;

era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga,

ne nsanyaawo n’embiri,"

bw’ayogera Mukama.

Veja também

Publicidade
Amós
Ver todos os capítulos de Amós
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-