Publicidade

1 Coríntios 7

32 Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama. 33 Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bw’anaasanyusa mukazi we; 34 aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba.

Veja também

Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-