Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Bassekabaka 1

11 Awo Nasani n’agenda eri Basuseba nnyina Sulemaani n’amugamba nti, "Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi? 12 Kale nno kankuwe amagezi, owonye obulamu bwo n’obwa mutabani wo Sulemaani. 13 Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?

Veja também