Pular para o conteúdo
Publicidade

Êxodo 16

11 Mukama n’ayogera ne Musa, ng’agamba nti, 12 "Mpulidde okwemulugunya kw’abaana ba Isirayiri. Bagambe nti, Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, n’enkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ "

13 Obudde nga buwungeera enkwale ne zijja ne zijjula olusiisira; ne mu makya ne wabaawo omusulo ku ttaka mu lusiisira. 14 Omusulo nga gwamuse ng’obudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ng’omusulo ogukutte olw’obunnyogovu obungi. 15 Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, "Kiki kino?" Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, "Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya.

Veja também