Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 16

Ibulaamu ne Agali

1 Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; 2 Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, "Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye."

Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.16:2 Obugumba kyatwalibwanga okuba ekibonerezo okuva eri Katonda. Era empisa mu biro ebyo yakkirizanga omukazi omugumba okulondera bba omuwala, bba gw’ayinza okuzaalako abaana. Abaana abo baabanga ba mukazi omugumba. 3 Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também