Kaabakuuku Yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya
2 Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira
naye nga tompuliriza?
Lwaki nkukaabirira nti, "Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,"
naye n’otonnyamba?
3 Lwaki ondaga obutali bwenkanya
era lwaki ogumiikiriza obukyamu?
Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,
empaka n’ennyombo byeyongede.