Pular para o conteúdo
Publicidade

Yobu 1

Yobu n’ebyAmaka ge byonna

1 Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi1:1 Uzzi yali nsi eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani. Yobu teyali Muyisirayiri. erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ng’atya Katonda. 2 Yalina abaana aboobulenzi musanvu n’aboobuwala basatu. 3 Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gy’ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n’abaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi z’ebuvanjuba.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também