5 Amatu gange gaali gaakuwulirako dda,
naye kaakano amaaso gange gakulabye.
7 Nga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, n’agamba Erifaazi Omutemani nti, "Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ng’omuddu wange Yobu bw’akoze.
10 Awo Mukama n’aggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama n’awa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka.