49 Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera omuntu n’atuuka ng’ava mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’agamba Yayiro nti, "Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya."
50 Naye Yesu bwe yakiwulira n’amugamba nti, "Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu."
51 Awo Yesu bwe yatuuka ku nnyumba ya Yayiro, n’atakkiriza bantu balala kuyingira naye mu nju wabula Peetero, ne Yokaana, ne Yakobo, ne kitaawe w’omwana, ne nnyina. 52 Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu n’abagamba nti, "Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!"
53 Ne bamusekerera nnyo, kubanga bonna baali bamanyi ng’omuwala afudde. 54 Naye Yesu n’akwata omuwala eyali afudde ku mukono, n’akoowoola ng’agamba nti, "Mwana wange, golokoka!" 55 Amangwago n’aba mulamu, n’asituka n’ayimirira. Yesu n’abalagira bamuwe ekyokulya. 56 Bazadde b’omuwala ne beewuunya, naye Yesu n’abakuutira obutabuulirako muntu yenna ebibaddewo.