Publicidade

Marcos 10

4 Ne bamuddamu nti, "Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba."

5 Yesu n’abagamba nti, "Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino. 6 Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. 7 Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. 8 Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. 9 Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."

Veja também

Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-