Pular para o conteúdo
Publicidade

Marcos 8

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ennya

1 Mu biseera ebyo, ebibiina ne byeyongera obunene nate, abantu emmere n’ebaggwaako. Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, 2 "Abantu bano bankwasa ekisa, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, naye tebalina kyakulya. 3 Singa mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalidde, enjala ejja kubasuula ku kkubo! Ate abamu bava wala."

4 Abayigirizwa ne bamubuuza nti, "Emigaati tunaagiggya wa wano mu ddungu eginaamala abantu bano bonna?"

5 Yesu n’ababuuza nti, "Mulinawo emigaati emeka?" Ne baddamu nti, "Musanvu."

6 Awo Yesu n’alagira abantu batuule wansi. N’addira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n’agimenyaamenyamu, n’agiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula. 7 Era baalina wo n’ebyennyanja bitono, nabyo Yesu n’abiwa omukisa n’agamba abayigirizwa be babigabule abantu. 8 Abantu bonna ne balya okutuusa lwe bakkuta, ne bakuŋŋaanya ebyabalema ebisero musanvu ebijjudde. 9 Mu kibiina ekyo mwalimu abantu ng’enkumi nnya. N’abasiibula.

Veja também